Omuntu afiiridde ku kubo e Mutungo Poliisi netegeeza nti terina mafuta – Sipiika Luyombya

Poliisi ekutte 5 kubyokuttibwa kwomusomesa

Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Poliisi e Mukono bwekutte abantu 5 kubyekuusa ku kutemulwa kwa Oloya Ivan, 30 omusomesa ku Sseeta High School – Mbalala Campus. Oloya yattiddwa nga 22 – March – 2025 mu Bajjo Cell, Nyenje Ward, Goma Division. Abakwatiddwa kuliko; – *Kasumba Paul*, 21, a casual worker […]

Ow’ekitiibwa Ssekandi awaddeyo ettaka bazimbeko ekkomera e Kyanamukaaka

Eyaliko omumyuuka w’Omukulembeze Edward Kiwanuka Ssekandi awaddeyo ettaka mu butongole eri ekitongole kyamakomera kizimbeko ekkomera wamu n’ennyumba zabasirikale mu Gombolola y’e Kyanamukaaka, mu Disitulikiti y’e Masaka. Ebiwandiiko yabikwasizza Commissioner General Johnson Byabashaija. #ffemmwemmweffe

Mufumbiro wesimbe e Busoga twongere okutambuza ekibiina – Muwonge Vianne

Muwonge Vianne, Councilor LC III Mutungo Zone II ngono Mukulembeze mu Kibiina kya National Unity Platform mu Disitulikiti y’e Nakawa avunaanyizibwa ku byamawulire avuddeyo nawandiikira Pulezidenti wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine ngayemulugunya ku ky’omumyuuka w’omwogezi wekibiina Alex Waiswa Mufumbiro okuvaayo nalaga nga bweyegwanyiza ekifo ky’Omubaka wa Nakawa East. Vianne agamba nti kino […]

Pulezidenti ekibba ttaka kisusse mu Bunyoro – Hon. Tinkasiimire

Omubaka wa Buyaga West Banabas Tinkasiimire avuddeyo nasaba Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuyingira mu nsonga zabantu abagobebwa ku ttaka naddala mu Gombolola y’e Ndaiga nga kikuumidde abantu mukutya nga tebasobola nakukulaakulanya kitundu. #ffemmwemmweffe

Pulezidenti Museveni atonedde ab’e Buyaga Ambulence

Pulezidneti Yoweri Kaguta Museveni olunaku olwaleero awaddeyo emotoka empya agafemulago eya Class B eri Buyaga West Constituency nga yakubeera ku ddwaliro lya Kagadi District Hospital okutaasa abantu b’omu kitundu. #ffemmwemmweffe

Pulezidenti Museveni asuubiza okwongera amaanyi mu byenjigiriza ebyobwereere

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nategeeza nga Gavumenti ye bwegenda okwongera amaanyi mukulaba nti ebyenjigiriza ebyobwereere mu masomera ga Gavumenti bitambula bukwakku mu myaka 2 egiggya. Pulezidenti okwogera bino abadde ku nsonga y’abaana abakyava mu masomero ga Gavumenti lwa bisale bya ssomero.

Poliisi ezudde omulambo gw’omwana eyagwa mu mwala e Wakiso

Omwogezi wa @Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga abasirikale ba UUganda Police Forcebalubbira nga bakolera wamu n’abatuuze bwebasobodde okunnyulula omulambo gw’omwana ow’emyaka 9 Nanyonga Shanitah eyaggwa mu mwala okumpi n’essomero wabadde asomera. Okusinziira ku Ssenga wa Shanitah, agamba nti yamuwerekerako ku ssomero nti wabula nakomawo awaka okukima pen wabula bweyali addayo ku ssomero […]

Lwaki aba NRM bwebawangula by-election balayizibwa mu bwangu – Hon. Ssemujju

Omubaka akiikirira Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda avuddeyo nasaba Sipiika wa Palamenti Anita Among aveeyo annyonyole Palamenti lwaki kitutte ebbanga ddene okulayiza Omubaka omulonde owa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Elias Luyimbaazi Nalukoola, mu ssaawa 24 oluvannyuma lwokulangirirwa ngomuwanguzi. Ono awadde ekyokulabirako ekya Michael Mawanda owa Igara East eyalangirirwa enkeera nalayizibwa. Ono asabye […]

Ku kya Nalukoola okulayira nkyalinda EC – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Anita Among avuddeyo nategeeza Palamenti nti ekirwisizza okulayira kw’Omubaka omulonde owa Kawempe North Elias Luyimbaazi Nalukoola Munnakibiina kya National Unity Platform kwekuba nti tanafuna ‘gazette’. Sipiika atangazizza nti omuntu bwawangula alinda erinnya lye okufulumira mu ‘gazette’ olwo nalyoka alayira nti wabula Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda abadde tanawuliza kuva […]