Munnamateeka w’omugenzi Katanga Ronald Mugabe Ruranga aleeteddwa okuwa obujulizi ku muntu we mu Kkooti Enkulu nategeeza nti enaku 2 nga tanafa Katanga yamunoonya ngayagala okukola ekiraamo.
Ono ategeezezza nti ekyenaku teyasobola kumusisinkana kuba olunaku lwebaali bategereganye olwa 2-November 2023, Mugambe yalinda Katanga mu offiisi ye ku kizimbe kya Cooperative Allaince okutuusa ssaawa mukaaga ezomuttuntu webamutegereza nti ono yali afudde.
Mugabe ategeezezza omulamuzi Muwata, nti Katanga yali mukwana ggwe okumala emyaka 17 nti era yalinga amukolera ku biwandiiko ebyenjawulo ebya bizineesi wamu n’ettaka. Mugambe era asobodde okulaga Kkooti namwandu wa Katanga wamu ne bawala be 2.
Namwandu Katanga wamu ne bawala be 2 okuli; Patricia Kankwazi ne Martha Nkwanzi bateeberezebwa okwenyigira mukutemula Kitaabwe Henry Katanga nga 3-November-2023.
Ogwokutta Katanga guzzeemu okuwulirwa mu Kkooti Enkulu ngoludda oluwaabi luleese omujulizi owomukaaga, Munnamateeka Ronald Mugabe Ruranga ngonoategeezezza nti yali Munnamateeka ate nga mukwano gwa Katanga nnyo okumala emyaka 17, wabula Ruranga afunye akaseera akazibu ne Bannamateeka ba Namwandu wa Katanga bwebaleese ekiwandiiko okuva eri omuwandiisi wa Kkooti nga kiraga nti ono tali ku lukalala lwa Bannamateeka mu Ggwanga nti era bwaba alina emirimu gyonna gyakola nga Munnamateeka abeera agikola mu ngeri ya kifere.
Bya Christina Nabatanzi