Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Luweero ne Rwenzori Alice Kabayo; “Olunaku olwaleero mbadde musanyufu okusisinkana wamu n’okwaniriza abagasse ku National Resistance Movement – NRM abaggya mu Disiulikiti y’e Masaka. Abantu 120 bebasaze ekerejje okuva mu National Unity Platform – NUP ne Democratic Party Uganda -DP era bano basuubizza okukunga banaabwe abasigaddeyo okwegatta ku NRM. Nasabya Bannakibiina okukolera awamu ate bbo abavubuka nembakubiriza okwenyigira mu mirimu egyokwekulaakulanya begobeko obwavu.”
120 begasse ku NRM okuva mu NUP ne DP e Masaka
