Waliwo akabenje ddekabusa akagudde mu Mabira ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja era abantu abawerako balusuddemu akaba oluvannyuma lwa lukululana ebadde eva e Kampala okudda e Jinja okwambalagana ne Kamunye (Takisi).
Lukululana nnamba UEH 918Z ebadde yeetisse mitayimbwa bweyambalaganye ne Takisi nnamba UAB 290U nga ebaddemu abasaabaze kkumi na bana.
Omusasi waffe e Lugazi Mpiima Livingstone ayogeddeko n’omwogezi wa Police e Lugazi Johnson Nsigambi n’ategeeza nti mu Kamunye ebaddemu abasaabaze 14 basobodde kutaasaamu aban
tu bokka era nga batwaliddwa mu malwaliro nga bapookya na biwundu. Kitalo nnyo ekyo!