150 bagumbye ku kitebe kya Disitulikiti lwa bunyazi bwa Ssentebe

Abantu abasoba mu kikumi mu ataano (15) beesitudde ne bagumba ku kitebe kya Disitulikiti y’e Mubende nga beemulugunya ku Ssentebe waabwe asusse okubanyaga .

Bano  abakulembeddwamu Zziwa Jackson , Nimusiime Evelyn nga bakiise ku lukiiko lw’eggombolola y’e Kitumbi abakiikirira omuluka gw’e Kiguude Mbiriizi, bategeezezza nti embeera ebakaluubiridde olwa Ssentebe waabwe abaggyako ensimbi eziri wakati w’emitwalo ekinaana (800.000) n’akakadde (100.000) buli atunda ekibanja.

Zziwa Jackson annyonnyodde nti Ssentebe w’e Kiccumba Nswa Bisuse Charles, abafuukidde ekizibu nga atuuse n’okwekomya ebintu by’abatuuze omuli, Amasimu n’ebyomumaka ebirala ,  ensonga bazitutte ku Lukiiko lw’eggombolola nebamulagira azzeey ssitampu ne yeerema .

Awo nno kino ne kiviirako abantu abasoba mu kikumi mu ataano  okusitukiramu ng’eyatega ogwekyayi nebagumba ku Disitulikiti e Mubende okulaga obutali bumativu bwabwe eri Ssentebe .

Wabula ye Ssentgebe w’e Kiccumba Nswa Bisuse Charles byonna ebimwogerwako abisambazze n’ategeeza nagbwewaliwo abamujwetekako ebigambo naddala abo b’atakkiriziganya nabo mu by’obufuzi.

Leave a Reply