Kitalo! Abantu 17 bebagambibwa okuba nga bafiiridde mu kabenje mu Disitulikiti y’e Pakwach olunaku lw’eggulo ku ssaawa bbiri n’ekitundu ez’ekiro ku kyalo Got Malara, kilometers 2 okuva mu tawuni y’e Panyimur e Pakwach.
Bano babadde batambulira ku motoka ekika kya FUSO nnamba UAV 118S eyalemeredde omugoba waayo ku kaserengeto bwetyo neggwa nga yabadde ettisse abasuubuzi b’ebyennyanja nga abasinga bava Aliwara ekirinaanye ensalo ya Uganda ne Democtratic Republic of Congo nga babadde bagenda mu katale e Panyimur
Kigambibwa nti abakyala abasoba mu 10 bebafiiriddewo mbulaga. Emirambo wamu n’abo abalumiziddwa ennyo batwaliddwa e Panyimur Health Center 3 ne Angal Hospital.