Abasajja 2 abateeberezebwa okubba Boda boda abatuuze babaguddeko ekiyiifuyiifu nebabakuba emigoba nte egibaserengesezza ekalannamo oluvannyuma n’emirambo nebagikumako ennaali wamu n’emmotoka mwebabadde batambuliza pikipiki .
Abantu bano babadde basatu , omu mukazi amanyiddwa nga Namande Prossy (27) era nga ye asimattuse okuttibwa , Police yeemutaasizza nga agenda kugiyambako okunoonyereza .
Bano babadde batuuze ku kyalo Lubaga mu Kampala .
Bino byonna bibadde ku kyalo Kawawa mu Ggombolola ye Lwamata mu Disitulikiti ye Kiboga .