2 bayimiriziddwa ku mirimu lwa kubulankanya bintu bya Ddwaliro – Kayunga

Abakozi babiri mu ddwaliro e Kayunga bayimiriziddwa mbagirawo ku mirimu gyabwe  okusobozesa okunoonyereza obulungi ku bigambibwa nti waliwo emivuyo mu ndabirira y’eddwaliro lino.

Ku bayimiriziddwa kwekuli abadde akulira ebyemirimu, Moses Namesa  ate n’akulira etterekero ly’eddagala ssaako n’ebintu ebirala, Isma Kawuka.

Okusinziira ku b’obuyinza mu Disitulikiti eno, Kigambibwa nti bombi bano kiddiridde okubbibwa kw’emifaliso 17 n’ebintu ebirala ebizze bibula ku ddwaliro lino.

Bino bikakasiddwa Ssentebe wa Disitulikiti y’e Kayunga, Tom Sserwanga.

Leave a Reply