Akabenje kagudde ku luguudo oluva Mbale okudda e Tirinyi, Kkosita nnamba UAR 991Z ebadde etwala abagenda okuziika e Budaka bw'eremereddwa okulinnya olusozi Nansanga n'edda emabega n'egwa era abantu 20 baddusiddwa mu ddwaliro e Budaka nga emagombe banaasimbayo kitooke .
Akulira Police y'ebidduka mu Tawuni Kkanso y'e Budaka Bwala Gerald agambye nti akabenje kano kavudde ku mbeera embi emmotoka eno mwebadde.
Wetwogerera nga abantu abafunye ebisago eby'amaanyi bakolebwako mu ddwalir lye Budaka.