29 bakwatiddwa Poliisi ku byekuusa ku kutta omusirikale e Ibanda

Uganda Police Force e Ibanda evuddeyo netegeeza ngabwekutte abantu 29 kubikwatagana n’okutta omusirikale wa Poliisi PC Chemonges Suleiman 28, okuva ku Bisheshe Police Station eyabadde asindikiddwa okuwa obukuumi mu kuziika omusibe Kahangire Lazarus eyafiiridde mu kaduukulu ke Kkomera lya Nyabuhikye Government Prison
Kahangire yali asindikiddwa ku alimanda kubigambibwa nti yagezaako okutemula omuntu mu bukuubagano bw’ettaka bwebalimu ne famire ya Mbabazi Vincent. Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi ow’ettunduttundu lye Rwizi SP Samson Kasasira, Constable Chemonges mukwetaasa yakubye abantu 2 amasasi agabalumizza naye nga bano badduse era banoonyezebwa.
Mu kuziika kigambibw anti aboluganda lwomugenzi Kihangire bataamye nebakuba PC Chemonges nebamutta nga bano babadde balumiriza Poliisi okubeera nakakwate mu kufa kwomuntu waabwe.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply