Abantu basatu bafiiriddewo mbulaga n’abalala kkumi nebaddusibwa mu ddwaliro nga bapookya na biwundu oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje ka takisi mu Disitulikiti y’e Kamuli.
Omusasi waffe Solomon Baleke obuuyi obwo atutegeezezza nti akabenje kano kagudde kumpi n’ekibuga ky’e Kamuli nga kavudde ku kimotoka ky’ebikajjo ekiyingiridde takisi ebaddemu abantu bano.
Ye Meeya wa Munisipaali y’e Kamuli, David Musasizi agamba nti akabenje kano kavudde ku kimotoka kya bikajjo era n’asaba Gavumenti okussawo enkola esobozesa emmotoka z’ebikajjo okutambula obudde bw’emisana bwokka.