3 bafudde ekirwadde ekitannategeerekeka oluvannyuma lw’okulya ennyama y’embizzi – Kiboga

Abantu basatu bafudde ekirwadde ekitannategeerekeka ate abalala mwenda bagambibwa okuba nga bapookya era nga bino biri ku kyalo Kisegu mu muluka gw’e Kikonda ekisangibwa mu Ggombolola y’e Kiryanga mu Disitulikiti y’e Kiboga, oluvannyuma lw’abantu 12 nga bano bava mu maka gegamu okulya ennyama y’embizzi  eyabadde efudde ekirwadde ekitaategeerekese.

Abakoseddwa ekirwadde kino baafunye okulumizibwa okutali kumu, nebagwamu ekidumusi , okunafuwa, okulumwa omutwe, omusujja wamu n’okulamusa embuga( Okusesema)

Mu bamu ku bano omukaaga, bataano basajja ate nga omu mukyala, baweereddwa ebitanda mu ddwaliro ly’e Kagadi .

Ye akolanga Director wa General Health Services, Dr. Mbonye agamba nti oluvannyuma lw’okwekebejja ebiva mu musaayi gwa bano wali ku kitebe kya Uganda Virus Research Institute biraga nti ono ssi Ebola, yadde Maabaaga, Kikungunya wadde akawuka akava mu bitudu bya West Nile .

Wano Minisitule y’eby’obulamu weesinzidde okukubiriza bannansi obutalya nsolo zifudde so ate bategeeze mangu ab’ebyobulamu singa balaba embeera eyeefaanaanyiriza ku bino .

Leave a Reply