3 bagombeddwamu obwala Police lwa kusaddaaka baana 2 – Kyankwanzi

Police mu Disitulikiti y’e Kyankwanzi egombyemu obwala abasajja basatu abateeberezebwa okwekobaana nebasaddaaka abaana babiri nga baasangiddwa nga batemeddwako emitwe mu Ggombolola y’e Gayaza.

Omusasi waffe e Kyankwanzi atutegeezezza nti abaana bano ba myaka 5 nga kitaabwe yabadde abatumye ku dduuka abasajja bano nebabateega era okukkakkana nga babaserengesezza e Kalannammo. Kitalo.  

Leave a Reply