Abakozi ba Umeme basatu bakwatiddwa nga bagezaako okubba Transformer, kuno kwabaddeko Francis Kagame, Edison Mugula ne Habib Kakulu nga ono yakubiddwa amasasi omukuumi ekiro ku ssaawa nga 7, bano baggyidde mu mmotoka ya UMEME UAN 832X.
Kigambibwa nti bano baalinnye emiti gy’amasanyalaze e Nsujjuwe mu ggombolola y’e Kiringente mu Mpigi nga bagezaako okubbayo Transformer. Bano babadde mu byambalo bya Kkampuni ya UMEME wabula omukuumi w’ekifo nabalagira okukka wansi. Wabula bano bwebavuddeyo basazeewo kudduka omukuumi kwekubawerekereza amasasi ne gakwatako omu natwalibwa mu ddwaliro e Mulago nga ataawa.
Joseph Musana nga ye mwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Katonga agamba nti week ewedde abantu abataategeerekeka babba wire z’amasannyalaze bwetyo kkampuni ya UMEME neteekayo omukuumi ow’emmundu kyokka bewuunyizza okula nti ate abakozi ba UMEME bebadde bagezaako okubba Transformer.
Mugula ne Kagame abaakwatiddwa begaanyi eby’okugezaako okubba transformer nga bagamba nti babadde balina bye batereeza.