Abasibe abaasoba mu 30 mu kkomera ekkulu ery’e Luzira basimattuse okuwanikibwa ku kalabba oluvannyuma lwa kkooti enkulu mu Kampala okukendeezaako ku kibonerezo kyabwe ne kidda ku kusibwa emyaka 10 ne 20 .
Asatu bano baali bvazza emisango egya nnamunkululu era nga ekibonerezo kyabwe kyali kyali kyakakasibwa dda kkooti ensukkulumu oluvannyuma lw’emisango egy’obutemu, obwa kkondo obw’ekika ekya waggulu gattako okwekakaatika ku baana abatanneetuuka .
Bangi ku bano babadde bamaze emyaka esatu mu kkomera nga balinda ekibonerezo kino eky’akalabba .