Abasajja 32 abaakwatibwa ku nsonga ezikwatagana n’okutemula abakulembeze b’obusiraamu olwaleero lwebadda mu kkooti enkulu mu kitongole ekiwozesa emisano egya naggomola emisango gyabwe gilyoke giwulirizibwe
Wabula okutuusa olwaleero tekinnaba kutegeerekeka oba nga kkooti eno yafuna amateeka n’ebiragiro ebiyinza okugobererwa obulungi ng’ekwata ku misango egy’engeri nga eyo kubanga gy’emisango egisookedde ddala egigenda okuwozesebwa kooti eno eri ku mutindo gw’ensi yonna .
Mu lutuula lwa kooti olwayita nga 18, Kasambula omwaka guno, emisango gino gyayimirizbwa nga kyetaagisaawo ebiragiro ebinaagobererwa kooti ku nsonga eno .
Mu bavunaanibwa mulimu akulira Abatabbuliiki mu ggwanga Amir Ummah Sheikh Yunus Kamoga ne muganda we Sheikh Siraje Kawooya n’abalala, nga bavunaanibwa emisango gy’obutujju, obutemu ku Sheikh Mustafa Bahiga, Sheikh Hassan Kirya n’okugezaako okutemula Sheikh Haruna Jjemba . Wabula abamu ku bavunaanibwa bawakanya eky’okuwozesebwa mu kkoti eno kubanga emisango gyabwe tegiri ku mutindo gwa nsi yonna .
Bano baakugoolekanya n’abalamuzi basatu omuli ; Ezekiel Muhanguzi, Percy Tuhaise ne Jane Kiggundu .