Poliisi eyigga Taata kaggwensonyi

Poliisi e Kakiri eri ku muyiggo ggwa Ivan Kiggundu nga kigambibwa nti abadde aleetera muwalawe ow’emyaka omusanvu abasajja bamusobyeko oluvannyuma lw’okukitegeera nti siyamuzaala.

Kigambibwa nti Maama w’omwana ono bweyagenda ku kyeeyo Kiggundu yamutwala ku DNA amukebeze nakizuula nti si wuwe bwatyo mbu olw’obusungu namuwaayo batandike okumukozesa buli kiro okutuusa bw’avunze ebitundu bye eby’ekyama.

James Kizza nga y’abeera n’omwana ono yategeezezza ng’abasomesa bwe baamuwulidde ng’avaamu ekivundu eky’amanyi wabula nga bwe bamubuuza tayogera, ekyabawaliriza okugenda ku poliisi gye yayogeredde nti kitaawe y’abadde amupangira abasajja ekiro.

Poliisi yasitukiddemu n’egenda mu maka ga Kigundu wabula baasanze adduse. Baakutte Paul Kalyesubula omwana gwe yabadde alonkomye nti amukozesa.

Omwana yategeezezza kitaawe abadde amutuma ewa Kalyesubula buli kiro ku ssaawa nga ssatu n’amuteeka ku buliri n’amusobyako, kyokka nga buli bw’abadde agamba kitaawe ng’amutiisatiisa okumutta singa abaako omuntu yenna gw’agamba.

Leave a Reply