Abantu bana bagudde mu nnyanja Nalubaale nebafiiramu nga kino kivudde ku lyato mwebabadde basaabalira okulemererwa nelibayiwa mu nnyanja bwebabadde bagenda okuziika munnabwe ku kyalo Mitala ekisangibwa okuliraana omwalo gw’e Katosi mu Disitulikiti y’e Mukono.
Abantu bano babadde bava ku mwalo gw’e Bunankanda nga boolekera ku gw’e Katosi balyoke bagende ku kyalo gyebabadde bagenda okuziika munnaabwe ku kyalo Mitala .
Kigambibwa nti abantu bano babadde 6 wabula abana beebagudde mu mazzi oluvannyuma lw’elyato kwebabadde okuzitoowererwa olw’obuzito obungi obubadde buva ku butimba obuvuba kwossa n’abantu ekyoleka nti lisussizza obuzito bweririna okwetikka.
Abafiiridde mu mazzi kuliko ebbujje ery’omwlaka ogumu ariyitibwa Brenda Nakubulwa , Justine Nakidde ow’emyaka 45 , Rose Mary Naluggwa ow’emyaka 47 ne Rogers Sodiya ow’emyaka 20 nga bonna batuuze ku kyalo Nankanda ekisangibwa mu Ggombolola y’e Ntenjeru mu Disitulikiti y’e Mukono.
Abantu bano okutegeerekeka kiddiridde ba kaawonawo babiri okuli abadde w’okmukyala ategeerekese nga Godrey Ssekanabo owa Naluggwa Rose Mary kwossa ne Musanera okutegeeza Poliisi y’e Katosi era n’esitukiramu ng’eyatega ogw’ekyayi okuggya okunnyulula emirambo.