Kkooti enkulu mu Kampala esindise abasajja bana mu nkomyo bakulunguleyo emyaka 37 oluvannyuma lwokusingisibwa omusango gw’okubba wamu n’okutemula omusuubuzi woomu Kampala Jim John Ibanda mu 2015.
Abasajja bano abana omuli ; Mubiru Hassan, Sserumaga Nicholas, Kanyolo Joshua ne Kisekka Anatoli bonna baali batuuze mu Nakulabye ekiri mu ggombolola y’e Rubaga mu Kampala.
Bwabadde asingisa abantu bano omusango, omulamuzi Joseph Murangira akikkatirizza nti emisango gyobutemu mu kampala gikutte wansi ne waggulu era mingi mu Kampala wamu n’okwetoloola eggwanaga lyonna, nabwekityo n’ategeeza nti okuwa bano ekibonerezo eky’okusibwa ebbanga eddene kigendereddwamu kuwa bano essomo ate n’abalala ababadde basuubira okuzza emisango nga gino.
Oludda oluwaabi lukakasizza nti omugenzi yattibwa mu kiro eky’ennaku z’omwezi nga 24, Mugulansigo 2015 ku luguudo Muteesa 1 e Nakulabye.
Abakaligiddwa baasanga John Ibanda ekiro nebamuyisaamu ensamba ggwe ssaako n’agakonde ebyamuviirako okuserengeta ekalannamo mu kaseera mpaawo lutemya lwa liiso, era oluvannyuma nebagwa mu nsawo ye nebaggyamu emitwalo 450000 egya Yuganda nebakuuliita nagyo.