Abatuuze abeeyambisa oluguudo oluva e Ntuusi- Kalushonshomezi – Lugusuulu okutuuka e Gomba bakedde kwekalakaasa olw’embeera gye lulimu okuli ebinnya ebisusse, amazzi okujjulamu n’ebisaka ebiviiriddeko abatemu okwekwekamu ne bakuba aba boda obuyondo n’okubabbako piki zaabwe nga baakoma okululima mu myaka kkumi emabega.

Bano basoose kulukolako Bulungibwansi nga beerudde amazzi ssaako okuziba ebinnya mu luguudo kyokka ne bakukkulumira Disitulikiti y’e Ssembabule obutafaayo kulondoola nguudo.

Yinginiya wa Disitulikiti eno Denis Sekitoleko abagumizza nti luno lwe lumu Ku nguudo ezigenda okukolwako mu mwaka guno ogw’ebyensimbi kyokka n’alaga okusoomozebwa kwe balimu olw’enkuba esusse okugootanya omulimu gw’okulima enguudo.

 

Leave a Reply