Abantu munaana okuva mu Kibiina ky'abagoba ba Bodaboda ekya Century Bbodaboda Cooperative Society nga kuliko ne Ssentebe waabwe Sula Lubega basindikiddwa omulamuzi atuula ku kkooti eya Mwanga ii mu Kampala ku alimanda mu kkomera e Luzira lwakukkira bintu bya ba Bodaboda 2010 nebabyonoona mu ngeri ey'effubitizi .
Lubega n'ekibinja kye, balina emisango esatu omuli : Okusaalimbira mu mpya ezitali zaabwe, okwonoona ebintu ate n'okulabika nga bakireereese abawedde emirimu nga mwotwalidde n'okutaataaganya abakola emirimu.
Sula Lubega y'akulira ekibiina ekya Bodaboda ekya Century ekiri ku mbiranye ennyo n'ekya Bodaboda 2010 ekikulirwa Abdullah Kitatta eyagombebwamu obwala amagye (CMI) gyebuvuddeko ku misango egy'ekuusa ku butemu.