9 bafiiridde mu kabenje 16 bapookya – Masaka


Amaziga enkya ya leero nga busaasaaana, Bus ya Kampuni ya Highway nnamba UAX 286 M ebadde egenda e Kanungu etomedde lukululana ebadde esimbye ku kkubo mu kitundu ky’e Matanga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka era abantu mwenda nebafiirawo mbulaga, ate abalala 16 ne baddusiddwa mu ddwaliro e Masaka nga biwala ttaka.

Mu bafudde mwemubadde ne Bishop w’e Kanungu Enoth Komundo.

Akulira Police y’e bidduka e Masaka Afande Nampijja Grace agamba nti Omugoba wa Bus abadde avugisa kimama. Kitalo.   

Leave a Reply