9 bafiiridde mu nnyanja Nalubaale

Abantu abali mu 9 bakakasiddwa nti bafiiridde mu kabenje oluvannyuma lw’eryato mwebabadde basaabalira okubayiwa mu nnyanja Nalubaale.

Bino bigudde ku kizinga ky’e Bukasa ekisangibwa mu ggombolola y’e Kyamuswa mu Disitulikiti y’e Kalangala nga babadde basaabala okuva Kisama kugoba ku mwalo gw’entebe basobole okwolekera ebitundu ebyenjawulo okulya Ssekukkulu.

Kigambibwa nti Yingini y’eryato kwebabadde basaabalira yeefunye obuzibu era neryebbika. Kitalo ekyo!

Leave a Reply