Owa Poliisi atayimirize lukugaana mwebatuvumira kakumujuutuka – Gen. Muhoozi
Mutabani w’Omukulembeze w’Eggwanga era omuduumizi w’eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba avuddeyo nawera; Omwaka 2025, gwe mwaka Bannayuganda lwebagenda okuyiga kyebayira enfuga eyamateeka kyetegeeza! Omuduumizi wa Uganda Police Force yenna atayimirize lukungaana lwonna mwebavumira Pulezidenti, CDF, abakulu mu Gavumenti oba omuntu yenna ‘First Family’ kakumujuutuka!!” #ffemmwemmweffe
Nambudde ku nte zange olwaleero – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Enkya yaleero, ngenze okulambula ku nte zange (enkoroogyi) e Rwakitura. Ntera okukubiriza abalunzi nti bwekiba kisoboka, bawulemu mu ffaamu zaabwe wamu n’okulimira ente zaabwe omuddo okugeza orunyankokoore (Chloris Diana) kuba gulina ebiriisa zebyetaaga.” #ffemmwemmweffe
Twebaza Katonda olwekirabo ekyobulamu – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Nze ne Maama Janet Kataaha Museveni olunaku lweggulo twalumalidde Rwakitura nga tuli wamu n’abaana baffe wamu n’Abazzukulu. Nga tujaguza Ssekukulu, njozayoza Bannayuganda olwokutuuka ku lunaku luno. Twebaza Katonda atukuumye nga tuli balamu, wadde nga tukungubagira banaffe abatuvaako nga abo abafiira e Kiteezi, mu mataba e Bulambuli nawalala. Wadde nga tulina okusoomozebwa, […]
Oluguudo lwa Mubende – Kassanda lusaliddwako – Poliisi
Poliisi y’ebidduka evuddeyo nerabula abebidduka abakozesa oluguudo lwa Mubende – Kassanda oluvannyuma lwa namutikwa w’enkuba, oluguudo luno luseerera nnyo e Kalongo. Musabiddwa okukozesa enguudo endala. Abava e Kampala okudda e Mubende: mukozese Hoima Road okudda e Kiboga – Kakumiro okudda e Mubende (Nabakomawo), abadda e Fort Portal mweyongereyo Hoima, Kagadi – Kyenjojo okutuuka e Fort […]
Kitalo! Baker Kasigwa afudde
Kitalo! Eyaliko emunyeenye y’Eggwanga ku ttiimu y’Eggwanga eyomupiira ogwebigere Uganda Cranes Baker Kasigwa avudde mu bulamu bw’Ensi ngafiiridde mu maka ge e Kisalizi mu Disitulikiti ye Masindi. Kasigwa ye musambi yekka abadde akyali omulamu ku ttiimu ya Uganda eyagenda mu Bungereza okusamba omupiira mu 1956. Yali ne ku ttiimubeyetaba mu Africa Cup of Nations owa […]
Bebaaliridde ez’ekibiina bookezza emotoka z’abantu
Emotoka ezisoba mu 10 zigiiridde mu muliro ogambibwa okuba nga gukumiddwa ba mmemba ba SACCO ababadde babanja ssente zaabwe zebabadde batereka. Omuliro guno gutandise ku ssaawa kumi ezookumakya negukwata Garage omubadde emotoka nga 14, akakolero akatono, ebbajjiro, ebyalani, ekifo webawummulira wamu ne sitoowa z’ebintu. Enjega eno egudde Kubbiri mu Mukwenda Zone, Makerere 1 Parish. Okusinziira […]
Kitalo! Owek. Nelson Kawalya afudde!
Kitalo! Eyaliko Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Nelson Kawalya afudde. Owek. PDG Nelson Kawalya kati omugenzi ku Lwomukaaga oluwedde nga 14 December yali naboluganda awamu n’emikwano nga bamusanyukirako olw’okuweza emyaka 50 mu bufumbo obutukuvu. Gutusinze Ayi Ssaabasajja twakuumye bubi. #ffemmwemmweffe
Poliisi eyiiriddwa ku One Love Beach e Busaabala
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Oluvannyuma lwolunaku lw’eggulo okukola akabaga akamalako omwaka ak’abaana banaffe abattibwa, ababuzibwawo oba bebasiba olwokutuwagira, Gavumenti olwaleero ekedde kuyiwa basajja baayo bwebakitegeddeko nti tuteeseteese akabaga kabanafffe betubadde tukolagana nabo. Bano nga baduumirwa Asiimwe bakedde kuyiwa basajja baabwe ku makya nebakwata abakozi ssaako okukuba omukka ogubalagala […]
Gavumenti egenda kutandika okulondoola ebyamagero Abasumba byebakola – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yavuddeyo nategeeza nga Gavumenti bwegenda okutandika okwekkaanya ebyamagero ebikolebwa naddala Abasumba b’Abalokole okukakasa nti Bannayuganda tebalimbibwalimbibwa. Pulezidenti okwogera bino yabadde aggulawo ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande empya gyazimbye eya Temple Mount Church of All Nations at Mulago, Kampala. Pulezidenti yategeezezza nti yadde Gavumenti erina okussa ekitiibwa mu ddembe lyokusinza: nti wabula […]