Aba Arts mulindeeko oluvannyuma lw’emyaka 5 mujja kufuna obukadde 4 – Bitarakwate

Omuwandiisi omukulu mu Minisitule y’Abakozi Catherine Bitarakwate Musingwiire avuddeyo nagumya abasomesa b’amasomo ga Arts nti nabo bakutandika okufuna omusaala obukadde 4 nga banaabwe abamasomo ga Science ku nkomerero y’emyaka 5.
Bitarakwate abyogeredde mu Kakiiko ka Palamenti, nayongerako nti batandika n’abasomesa ba Science naye nga naba Arts babalowoozaako okufuna ssente zezimu.
Leave a Reply