Abagoba ba Bodaboda mu Kampala balumbye yafeesi z'ekibiina kya Bodaboda 2010 mu bitundu eby'enjawulo omuli ey'e Nateete ne Bukesa nebazimenya era nebakuma omuliro ku bintu ebikozesebwa naddala ebibajje omuli entebe ezituulwako n'emmeeza byonna nebisirikka.
Abamu ku bantu Luboggola Simba beeyogeddeko nabo bagamba nti bawagidde eky'aba Bodaboda okulumba yafeesi za Bodaboda 2010 kubanga babonaabonye nnyo olw'ebikolwa bya Bodaboda 2010