Ab’ekibiina kya Democratic Party bagamba nti bawakanya ne ssekuwakanya yenna era tebakkiriziganya na kyasaliddwawo Pulezidenti Museveni eky’okufuula ba “Crime Preventers” ekitundu ku magye nti kiyinza okuttattana ekifaananyi ky’eggye ly’eggwanga.
Kino kiddiridde Pulezidenti Museveni ssabbiiti ewedde okuvaayo mu lwatu n’alangirira nga ba Crime Preventers bwebali obutereevu mu nteekateeka ye so ssi ya Kayihura era n’akakasa nga bw’agenda okubafuula eggye ezzibizi.
Kenneth Kakande omwogezi w’ekibiina kya DP bw’abadde ayogera mu lukungaana lwa Bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina ku City House mu Kampala, agambye nti ssemateeka akirambika bulungi ku nsonga y’amaggye n’ennyingiza y’abantu .