Ab'ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement (NRM) bawakanyizza obuwanguzi bwa munna FDC Paul Mwiru mu kalulu ka Jinja East akaalangiriddwa akakiiko k'ebyokulonda akawungeezi akayise.
Ebyalangiriddwa akakiiko k'ebyokolunda byoleka nti Paul Mwiru yafunye obululu kakaaga mu lukaaga mu ataano mu buna (6654) ate Nabeta owa NRM n'afuna enkumi ttaano mu ana mu busatu (5043).
Ssaabawandiidi w'ekibiina kya NRM, Justine Kasule Lumumba asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire e Jinja mu ttuntu lya leero n'ategeeza nti okulonda kwa jjo kwetobeseemu emivuyo mingi omuli okubba akalulu, abantu okulonda emirundi egisoba mu gumu nga mw'otwalidde n'okutiisatiisa abalonzi.
Lumumba agamba nti bamaze okulagira bannamateeka b'ekibiina okukunganya obujulizi balabe eky'okukola.