Ebifuba enkya yaleero bikedde kubuguma Abavubuka Bannakibiina kya Forum for Democratic Change wamu ne Bannamawulire ababadde bakedde okugenda okusaka amawulire mu lukungaana lwa Bannamawulire olw’ekibiina kino olubeerawo buli wiiki wali ku kitebe ky’ekibiina kino e Najjanankumbi.
Obuzibu bwavudde ku mukungu wa FDC okuvaayo nategeeza Bannamawulire nti olukungaana lwabadde lusaziddwamu olw’okuba nti Omwogezi w’ekibiina Ibrahim Ssemujju Nganda yabadde alina meeting y’ekibiina endala gyalimu ekyanyiizizza Bannamawulire ababadde bakedde nga balinda ekyaviiriddeko abamu okusigala mu kifo awakunganirwa.
Wano abavubaka ba FDC basazeewo okusibira Bannamawulire munda mu Conference room ekyavuddemu okulwanagana okwamaze eddakiika 20. Wabula abamu ku bakulembeze b’ekibiina kino okuli Namyanzi Pauline bwebalabye nga embeera esajjuse kwekuvaayo nebasaba Bannamawulire okukakana nga banenya Bannakibiina ababadde bagezaako okusibirayo Bannamwulire.
Ye Omwogezi w’ekibiina ekigatta Bannamawulire ekya Uganda Journalists Association Ronald Kabuye avuddyo n’asaba akakiiko akakulembera FDC okuvaayo ketonde bwebaba baagala Bannamawulire okuddamu okusaka amawulire g’ekibiina kino. Bawadde FDC olunaku lumu okuvaayo okwetonda oba si ekyo balekerawo okusaka amawulire g’ekibiina.