Abaali bannanyini Greenaland Bank ne International Credit Bank balumirizza Bbanka Enkulu nga bwe yalina ekigendererwa ky’okusuula bbanka za Bannayuganda, ekintu ekyabawalirizanga okuziggala mu kifo ky’okuziyamba okusigala mu bizinensi.
Ahmed Sseguya eyasomye ekiwandiiko ku lw’abaalina emigabo mu Greenaland Bank yategeezezza ababaka abatuula ku kakiiko ka COSASE akabuuliriza ku mivuyo egyetobeka mu kuggala bbanka nti engeri bbanka yaabwe gye yayisibwamu kyeraga nti baagirinako obukyayi.
Yategeezezza nti okusooka baafunamu obuzibu bw’ensimbi era ne basalawo okwekubira enduulu mu Bbanka Enkulu nga baagala babawole ddoola emitwalo 10, ne bagaana.
Kyokka kyabewuunyisa okulaba oluvannyuma nga Bbanka Enkulu etegeeza nga bwe yasasaanya obuwumbi 24 mu kuggala Greenland Bank. Ne yeebuuza engeri gye kiwa amakulu mu bizinensi.
Ekirala ekibaluma kwe kubeera nga bukya bbanka eggalwa nga March 31, 1999 bafubye okulaba nga basisinkana abakulira Bbanka Enkulu basobole okumanya eby’obugagga ebyali mu bbanka yaabwe kyokka baagaana wadde okubasisinkana.
Wadde nga baagezzaako okuloopa emisango mu kkooti, kyokka tebaafuna kuyambibwa wadde omusango okuwulirwa.
Mu kiseera Greenaland we baagiggalira yalina eby’obugagga okuli; ettaka n’ekitebe ebiri ku Kampala Road nga bibalirwamu obuwumbi 16 mu kiseera ekyo.
Baalina kkampuni ya Greenaland Insurance Company, Entebbe Resort Beach, Kampala University, Uganda Grain Millers, Rock Hotel, ssente z’obuliwo obuwumbi 32, obuwumbi musanvu ezaali mu ggwanika lya Bbanka Enkulu n’ebyobugagga ebirala.
Kuno kw’ogatta n’ebyobugagga ebyali mu matabi ga bbanka agaali e Kenya, Tanzania ne Zanzibar.
Eby’obugagga byonna balumiriza nti byabalirirwamu omuwendo gwa ssente oguli wansi ennyo. Sseguya yagambye nti ssente ze baagala baliyirirwe zisukka obuwumbi 500.
Ekisinga okubaluma kwe kuba ng’abaalina emigabo mu bbanka bagenda bafa, ng’okubalwisa kalinga akakodyo k’okubalinza bonna basooke bafe nga tewakyali abanja.
Beewuunyizza engeri amabanja ba Greenland Bank, International Credit Bank ne Cooperative Bank gye baagagatta olumu nga gabalirirwamu obuwumbi 135.
Kyokka ate ekisinga okwewuunyisa y’engeri gye gaaguzibwamu kkampuni ya Niale River Requisition Company ku buwumbi munaana nga bamaze okubasalirako ebitundu 93 ku buli 100.
Patrick Kato eyali akulira International Credit Bank (ICB) yagambye nti baabaggalawo nga September 18, 1998 nga bagamba nti baali tebakyalina ssente zikola bizinensi.
Mu kubaggala tebalina wadde we baateeka ekiwandiiko okumanya ebintu bye baali basanzeemu era n’okutuusa leero tebamanyisibwanga.
Yasabye wateekebwewo akakiiko akeetongodde kabuulirize ku by’obugagga ebyali mu ICB kuba ekyakolebwa kwali kwagala kulemesa bbanka za Bannayuganda okukola, basigaze ezaabagwira n’awunzika ng’agamba nti: Mbasaba mukyebuuze lwaki ku bbanka zonna eza Bannayuganda ze zaasooka okuggalwa kuba kye mmanyi n’endala zaalina ebizibu bye bimu!
Abdu Katuntu (Bugweri) era ssentebe w’akakiiko yategeezezza bannannyini bbanka nga bwe bagenda okukola omulimu n’obwenkanya kuba kye banoonya kwe kulaba nga ssente z’abateresi, abaalina emigabo ne Bbanka Enkulu nga bonna emirimu bagitambuliza mu mateeka.