Aba Munisipaali y’e Mbarara baggudde olutalo ku mbwa, basse 80

Ekyasaliddwawo abakulira Munisipaali y’e Mbarara okuwa embwa ezisoba mu 80 obutwa kinyiizizza nnyo bannannyini zo nga bakukkulumira abatwala Munisipaali eno olw’obutabatemyako nga bagenda okuteeka kino mu nkola .

Ku lwokubiri lwa ssabbiiti eno , abakulira Munisipaali eno baawa embwa ezisoba mu 80 obutwa lwakutaayaayiza mu kibuga wamu ne mu bifo awakungaanyizibwa kasasiro. Kino kigenze okubaawo nga aboobuyinza mu bbanga lya myezi ebiri eriyise basse embwa 70 mu Divisoni y’e Kamukuzi.

Jackson Kabagambe nga mutuuze ku kyalo Katete afiiriddwa embwa ze bbiri agamba nti aba Munisipaali baalibadde beefunyirira ku kukungaanya kasasiro mu kifo ky’okutta embwa.

 Ate Juliet Mugisha nga naye yafiiriddwa embwa agamba nti embwa zikozesebwa nga eby’okwerinda ebisookerwako nga zaalibadde tezittibwa .

Wabula ye Omusawo w’ebisolo mu Disitulikit y’e Mbarara, Dr. Mwebembezi agamba nti eky’okuwa embwa obutwa kikyagenda mu maaso.

 

Leave a Reply