Waliwo ekibinja ky’abawagizi ba NRM abavuddeyo n’enteekateeka eya Tutereeze mu kawaayiro aka 102 (b) mu Ssemateeka w’eggwanga akaluubirira okuggyawo ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga.
Ekibinja kino nga kikulembeddwamu ssaabakunzi mu Kibiina kya NRM Faridah Mayanja, era nga bakungaanidde ku ssomero lya Nakivubo Blue mu kibuga Kampala, bagamba nti Pulezidenti Museveni agende mu maaso n’okukulembera eggwanga kubanga alifuze bulungi.
Enteekateeka eno ejjidde mu kiseera nga ab’ekibiina kya DP baavaayo n’enteekateeka gyebaatuuma K’ogikwatako nga basimbira ekkuuli eky’ennongoosereza mu bbago lino.