Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe ly’obuntu mu Ggwanga Mairam Wangadya avuddeyo nategeeza bbo nga Abakakiiko bwebalemereddwa okumanya amayitire g’abantu 18 abaawambibwa emyaka 2 emabega okuli John Bosco Kibalama n’abalala. Ssentebe w’akakiiko kano asabye ekibiina ki National Unity Platform NUP okukomya bunnambiro okuyita abakwatibwa ab’ebyokwerinda nti babeera bawambiddwa kubanga si kituufu.
Aba NUP mulekerawo okuwoza nti abebyokwerinda bawamba abantu bammwe – Wangadya
