Director Information and Publicity mu Kibiina kya National Resistance Movement – NRM Emmanuel Lumala Dombo avuddeyo navumirira eky’abamu ku Bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya Gavumenti okuwagira ebikolwa by’okwekalakaasa ebigenda maaso mu Kenya.
Dombo agamba bano bwebaba basobola okuwagira ebikolwa bino kiraga nti sibeetegefu kukwata buyinza. Ono era bano abawadde amagezi nti obudde babumalire mu kuzimba ebiibina byabwe okusinga okubuukira ebitabakwatako.