Bannakisinde kya Poeple Power abakwatibwa wiiki nga bbiri eziyise enkya
yaleero bateereddwa Kkooti ya Law Development Center ku bigambibwa nti
omusango ogubavunaanibwa ogwokusaasanya amawulire ag’obulimba
gwasimuulwa dda mu bitabo by’amateeka emyaka 15 egiyise.
Kigambibwa
nti Moses Bigirwa, bwe yali ku Pulogulaamu ya Leediyo emu yategeeza nga
Gavumenti ya NRM bweyalina olukwe okutta omubaka wa Kyaddondo East
Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine mu kalulu akaali mu Arua omwaka oguwedde.
Omulamuzi w’eddaala erisooka Roselyn Nenge avuddeyo nanenya oludda
oluwaabi wamu n’omuwawabirwa olwobutavaayo kulaga kkooti nti omusango
oguvunaanibwa Bigirwa gwagibwa mu bitabo by’amateeka emyaka 15 egiyise.
Era bwatyo nalagira omusibe ateebwe okujjako nga waliwo omusango omulala
oguli mu mateeka ogumuvunaanibwa.