Akulira ebibiina bya Rotary mu Yuganda ne Tanzania Keneth Mugisha agamba nti tebayinza kutunula butunuzi nga obutonde bw’ensi butyoboolwa enkya n’eggulo nga kino ob’olyawo kyekiviiriddeko ebirwadde ebikakali okwegiriisiza mu bantu.
Kenneth Mugisha asinzidde mu Disitulikiti y’e Mityana ng’eno gy’atongolezza kaweefube ow’okusimba emiti ng’e rimu ku kkubo ely’okutaasa obutonde bwensi obutyobooleddwa era ng’ono kaweefube amutandikidde mu kibiina ekya Rotary ettabi ely’e Mityana era wano waasinzidde n’agamba nti alina ekiluubirirwa eky’okulaba nga basimba emiti egisukka mu bukadde kkumi buli mwaka .