Aba Takisi e Kawempe bakubye owa ISO

Ba Ddereeva ba Takisi e Kawempe bavudde mu mbeera nebakuba omusirikale wa ISO Isma Wamala nga bamulanga okubeera omu ku basirikale ababadde mu ngoye ezabulijjo abakutte Ssentebe waabwe Francis Nsubuga Ssemakadde ku lw’okusatu.
Semakadde yakwatiddwa abasajja basatu ababadde mu motoka eyabuyonjo nnamba UAB 956B nga babadde n’emmundu nga bamusanze agenda Bwaise ku siteegi.
Baddereeva bagamba nti banoonyezza munaabwe ku Poliisi zonna mu Kampala okuli ey’e Kawempe, Wandegeya, CPS ne Kampalamukadde nga taliiyo ekyabaleetedde okusoberwa.
Leave a Reply