Executive Director w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu ggwanga ekya Uganda National Roads Authority Allen Kagina wamu n’abakungu abalala balambudde oluguudo lwa Fortportal-Bundibugyo olwakoseddwa oluvannyuma lw’amataba n’okubumbulukuka kw’ettaka.