Omubaka Nsereko Muhammad akiikirira amasekkati ga Kampala wamu n’owa Ndorwa East David Bahati beegasse ku balala omusanvu okuvuganya ku amyuka omukubiriza wa Palamenti.
Bahati aggyeyo empapula z’okuvuganya ku kifo kino mu kakiiko ka NRM akeebyokulonda enkya ya leero ezimukwasiddwa Ssentebe w’akakiiko kano Dr. Tanga Odoi ku ssaawa nga ttaano .
Mukwogerako ne Bannamawulire , Bahati agamba nti alina obumanyirivu obumala mu bya mateeka okwo kwogatta n’obuwagizi bwalina okuva eri babaka banne .
Ayongerako nti obumanyirivu bwalina nga omumyuka wa Ssenetebe w’ababaka ba NRM mu Palamenti, obuwanika nga kwogasse n’obumyuka bwa Nampala w’ababaka ba NRM n’obuweereza obulala kimala okuzitoya obukulembeze bwe .
Wabula ye Dr. Tanga Odoi asiimye obutasabirawo kalulu kyere ng’ababaka abalala era n’amusaba agumiikirize okutuusa ku bbalaza nga olukiiko olusunsula lumalirizza omulimu gwalwo .
Mubalala abavuganya ku kifo kino mulimu ; Monicah Amoding ,Jovan Kamateeka , Abbas Agaba , Denis Obua , Theodore Ssekikubo, Wilfred Nuagaba ne Jacob Oboth .