Abaami b’Amagombolola abaggya okuli Mutuba II Kakiri, Mutuba 1 Masuliita, Musaale Ssisa, Mutuba V Entebbe, mu Ssaza Busiro batuuziddwa mu butongole mu buweereza buno.
Oweek Kangaawo Ronald Mulondo, Katambala Oweek Hajji Sulaiman Magala, ne Kaggo Oweek Agnes Nakibirige Ssempa bebatuuzizza abaami bano mu bifo byabwe.
Omukolo gwa leero ogw’okutuuza omwami w’egombolola ya Mutuba V Entebbe gukoleddwa Kaggo Oweek Agnes Nakibirige Ssempa ku kitebe kya Division ye Entebbe e Entebbe.