Abaasomerako ku ssomero lya Kisubi Girls balidduukiridde

Abaasomerako ku ssomero lya Kisubi Girls Primary School eryakwata omuliro gyebuvuddeko batandise okudduukirira essomero lino okusobola okuzzaawo ebyayonoonebwa n’ebizimbe ebyakwata omuliro.
Bano nga bakulembeddwamu Gorret Lumala Nassejje badduukiridde essomero lino n’obusawo bwa sseminti 100 ssaako ebintu ebirala ebikozesebwa abayizi ab’ekisulo ku ssomero lino.
Leave a Reply