Palamenti ekkirizza Gavumenti okusasula abasuubuzi abaawa South Sudan ebintu eby’enjawulo ebikozesebwa wakati wa 2008 ne 2010
Kino kijjidde mu kiseera nga wabaddewo akabugumu mu kukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno nga ababaka basimbira ekkuuli ekya Gavumenti ky’ebadde nakyo eky’okusasulako amakampuni kkumi gokka gebaawa Palamenti oluvannyuma lw’akasambattuko akaabalukawo mu ggwanga lino okusasula nekujjamu omukoosi nga ssente ziri eyo mu buwumbi 151 .
Ezimu ku kkampuni ezikakasiddwa zisasulwe mulimu; Aponye Uganda, Kibungo Enterprises, KK Transporters, Ropani International Company , APO General Agencies n’endala
Omubaka mu Palamenti owa Kyotera ategeezezza Palamenti nti Gavumenti yagenda mu ndagaano nga y’akusasula amakampuni 13 nga n’olwekyo tekiba kya bwenkanya n’akatono okusasulako kkumi zokka endala nezisigala neemagaza.