Abaazirwanako baagala Pulezidenti Museveni abasasule

Nga Uganda ejaguza okuweza emyaka 54 bukya efuna bwetwaze , abaazirwanako abamanyiddwa nga ba “Veterans” balinye mu kyoto nga  baagala Pulezidenti  Museveni abaliyirire ssente zaabwe zebaateeka mu lutalo olwamuleeta ne Gavumenti  ye eya NRM mu buyinza.

Bano, mu kiseera kino nga bakubye olusiisira lwabwe e Lwamata, bakulembeddwamu Ssentebe waabwe Tomusange Jagwe Tindyebwa bagamba nti sibeetegefu kuva mu kifo kino okutuusa nga Pulezidenti  Museveni abawadde ssente zebakozesa mu Lutalo.

Abantu bano  abakunukkiriza mu 700 , bazimbye ensiisira ku Lusozi luno olw’e Lwamata nga bagamba nti Pulezidenti Museveni wano weyatandikira olutalo olwaleeta NRA/NRM mu buyinza era bakutte  bakutte ebipande nga baagala basasulwe.

Saabawandiisi w’ekibiina ekigatta abaazirwanako, Muwanga Nkalubo agamba nti nga Abaazirwanako baatunda ebintu byabwe omuli: ente, emmere, n’ebikozesebwa ebirala mu lutalo kyokka Gavumenti olwatuuka mu buyinza teyabajjukira

Bagamba ebanga ddene nga balimbibwalimbibwa era nga kati baagala Pulezidenti  Museveni kennyini abasisinkane abanyonyole lwaki tebannasasulwa.

Bano era bagamba wadde baaweebwa emidaali, abaana baabwe abaafa ssaako bakadde baabwe sibyebagenda okulya.

Ensonga z’abaazirwanako zizze zigulumbya Gavumenti  nga yatuuka n’okuteekawo Ministule eyeetongodde nga kyokka nabuli kati ensonga zaabwe bagamba tezikolwangako.

Leave a Reply