Ab’oluganda bana ababadde bava okuziika eyaliko omubaka wa Palamenti, Dr
Herbert Lwanga n’abasaabaze abalala 14 baasumatukidde watono okufiira
mu kabenje ka Fuso eyalemereddwa okulinnya akasozi n’okusiba n’etomera
mmotoka endala bbiri ng’edda ekyenyumanyuma.
Akabenje kano kaabaddewo
mu kiro ekikeesezza olwaleero ku kasozi k’e Masaba e Bukulula ku
luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala.
Kaavudde ku loole ekika kya
Fuso magulukkumi nnamba UAJ 034H eyalemereddwa okulinya akasozi n’egaana
n’okusiba ekyagiviiriddeko okudda emabega n’ekalabula takisi nnamba UBA
144B n’eya buyonjo nnamba UBD 141U.
Geoffrey Matovu eyabadde avuga
FUSO eno yasImatusse n’aboluganda lwe; Aminu Jjaggwe, Sylivia Nnakakande
ne Florence Ssenoga ab’e Salaama – Munyonyo mu Kampala
Ate ddereeva wa takisi, Paulo Kateregga yawonye n’abasaabaze be 14.
Poliisi e Lukaya mmotoka yaziggyewo n’ezitwala ku kitebe kyayo