Olunaku olwaleero kubadde kujaganya ku kitebe kya National Unity Platform e Kamwokya bwebadde baaniriza Ababaka ba Palamenti abegasse ku kibiina kino nga bava mu kibiina kya Democratic Party Uganda. Bano kuliko; Hon. Mpuuga Mathias, Hon. Medard Lubega Sseggona, Hon. Betty Nambooze Bakireke, Hon. Muhammad Muwanga Kivumbi, Hon. Joseph Ssewungu Gonzaga, Hon. Allan Sewanyana, Hon. Veronica Nanyondo, Hon. Moses Kasibante, Hon. Sempala Kigozi, Hon. Florence Namayanja ne Hon. Robina Sentongo.
Kati Ababaka abekagatta ku NUP baweze 17. Bano begatiddwako Bannakibiina kya DP abalala okubadde Ssentebe wa Wakiso Matia Lwanga Bwanika, Dr. Abed Bwanika, Hon. Michael Mabikke, ne Joseph Mayanja aka Jose Chameleone.
Ku lunaku lwelumu bajjukiridde banaabwe abafudde okuli Yasin Kawuma n’abalala era nebasabira emyoyo gyabwe.
NUP era eyanjudde abakulembeze mu NUP n’ebifo byabwe nga bano kuliko; Dr. Lina Zedriga Waru (Deputy President, North), Hon. Jolly Mugisha (Deputy President- West), Hon. Mathias Mpuuga (Deputy President- Central) and Hon. John Baptiste Nambeshe (Deputy President- East), Mr. David Lewis Rubongoya (Secretary General) ne Ms. Aisha Kabanda (Deputy Secretary General).