Ababaka ba Palamenti ab’akabondo akakola ku nsonga z’abaana aka Parliamentary Forum on Children bawadde Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi ennaku 4 zokka ng’amaze okwetondera Bannayuganda wamu n’okumenyawo enteekateeka z’awomyemu omutwe z’okufuula abakazi b’obubina eky’obulambuzi mu mpaka ze baatuumye ‘Miss Curvy’.
Mu kwogerako eri bannamawulire ku palamenti , ssentebe w’akabondo k’abaana era omubaka akiikirira Ayivu County mu Palamenti, Bernard Atiku agambye nti singa Olwokubiri lwa ejja lutuuka nga Kiwanda tanneetondear Bannayuganda n’okusazaamu empaka zino, bagenda kuleeta ekiteeso mu palamenti ekimuggyamu obwesige ku bwaminisita kuba atyobodde nnyo ekitiibwa ky’abakazi.
Atiku ategeezezza nti enteekateeka za minister ez’okufuna abawala abalina amakudde bakole nga eky’obulambuzi zigenda kuletera abaana abawala abali mu masomero okwongera okwononeka wamu n’okugenda mu madduka ag’enjawulo agatunda ebiragala ebikola amakudde ekintu ekiyinzza okuba eky’obulabe enyo eri obulamu bwabwe kyagambye nti minister alina okuvayo yetondere eggwanga.
Atiku era anenyezza nnyo abakungu abakulira ekitongole kya Uganda Tourism Board olw’okulemererwa okuwabula Minisita Kiwanda ng’aleeta enteekateeka ezigendereddwaamu okuswaza wamu n’okutyoboola ekitiibwa ky’abakazi mu Uganda.
Ate ye omubaka wa Kasambya mu palamenti, Mbwatekamwa Gafabusa anenyezza nyo minister ow’empiisa n’obuntubulamu, Fr. Simon Lukodo okulemwa okuvaayo n’amaanyi mangi okuvumirira ensonga eno nga bwe yakola ku bya ‘Nyege Nyege’ .
Mbwatekamwa asabye bannadiini n’abakulembeze abalala abatali bamu okubeegattako okuvumirira enteekateeka za Kiwanda ne banne z’agambye nti ziytoboola ekitiibwa ky’abakazi bannakazadde b’eggwanga