Ababaka ba Palamenti abamu bavuddeyo nebawakanya ekya Parliamentary Commission okuleeta ekiteeso ekyokwongeza Ababaka emisaala wamu n’ensako mu kaseera kano nga Bannayuganda bakaaba lwa miwendo gyebintu egirinnye.
Wabula abamu bbo bakiwagira naddala Ababaka b’Ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement – NRM nga bagamba nti kigidde mu kaseera akatuufu, abalonzi basusse okubassa ku nninga nga babasaba ssente.