Ababaka ba Opposition abaagala okugolagana ne NRM temukukuta – LOP Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti, Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo ku Babaka abali ku ludda oluvuganya Gavumenti wabula nga bano bateetera ne Gavumenti nabasaba baveeyo mu lwatu begatte ku National Resistance Movement – NRM okusinga kwebuzaabuza.
Mpuuga agamba tebalina bwebayinza kutuukiriza bigendererwa bya ludda luvuganya ng’ate mulimu abakukuta ne Gavumenti ng’ate bakimanyi bulungi nti ebigendererwa by’enjuyi zombi byanjawulo nnyo.
Ono ategeezezza nti ekiseera kituuse Ababaka ab’engeri eyo bagende ewa Nnampala wa Gavumenti abateeke mu bitabo bye bawone okubeera ba kirumira mpuyi bbiri.
Leave a Reply