Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko akavunaanyizibwa ku byokwerinda wamu n’ensonga zomunda mu Ggwanga bali mu Greater Masaka okwekeneenya ensonga z’ettemu mu kitundu kino wamu nengeri Gavumenti gyekuttemu ensonga eno.
Ababaka begatiddwa ababaka ba Palamenti abava mu kitundu kino wamu ne Baminisita bebyokwerinda wamu n’obutebenkevu wamu nabo abavunaanyizibwa ku byokwerinda mu kitundu.