Ababaka babawadde obukadde 5 olwokulonda Among ne Tayebwa

Amawulire agava mu Palamenti galaga nti Ababaka b’ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement – NRM buli omu yafune obukadde 5 ng’akasiimo olwokulonda Anita Among ku bwa Sipiika wamu n’omumyuuka we Thomas Tayebwa. Kigambibwa nti ensimbi zino zakwasiddwa Omubaka omu omu okuva mu buli kitundu olwo ye nagabira banne bwebava mu kitundu ekimu.
Omubaka wa Kalungu West Joseph Ssewungu Gozanga bwabadde ayogerako ne Simba atutegeezezza nti ensimbi zino zagabiddwa olunaku lw’eggulo. Ssewungu yewuunyizza lwaki Gavumenti yasabye ensimbi ezenyongereza mu mbalirrira yaayo okuziika Sipiika Jacob Oulanyah kyokka nefuna zegaba bwetyo. Ssewungu avumiridde nnyo ekikolwa kino ekyokugulirira Ababaka, era ayongeddeko nti Ababaka abamu abali ku ludda oluvuganya abalina akakwate ku NRM nabo baweereddwa ssente.
Leave a Reply